1 Peter 2

Ejjinja Eddamu n’Eggwanga Ettukuvu

1 aKale mukomye buli ngeri yonna ey’ettima, n’obulimba bwonna, n’obukuusa, n’obuggya, n’okwogera ekibi kwonna. 2 bNg’abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata ag’omwoyo, muganywenga mukule era mulokolebwe, 3 ckubanga mwalega ku bulungi bwa Mukama.

4 dMujje gy’ali kubanga ye ly’ejjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era ery’omugaso omunene ennyo. 5 eMujje gy’ali nga muli ng’amayinja amalamu, muzimbibwemu ennyumba ey’omwoyo. Mulyoke mube bakabona be abaweereza ssaddaaka ey’omwoyo, esiimibwa Katonda mu Yesu Kristo Mukama waffe. 6 fKubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,

“Laba, nteeka mu Sayuuni,
ejjinja ery’oku nsonda ery’omuwendo omungi eddonde,
oyo eyeesiga Kristo,
taliswazibwa.”
7 gEjjinja eryo lya muwendo mungi nnyo eri mmwe abakkiriza. Naye eri abatakkiriza,

“Lye jjinja abazimbi lye baagaana,
lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.”
8 hEra

“Lye jjinja abantu lye beekoonako,
lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.”
Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe ky’ateekebwateekebwa.

9 iNaye mwe muli kika kironde, bakabona bw’obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza n’abayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika. 10 jEdda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda, era mwali temusaasirwa, naye kaakano Katonda abasaasidde.

Abaweereza ba Katonda

11 kAbaagalwa, mutegeerere ddala nti ku nsi kuno muli bayise. Kyenva mbeegayirira mwewale okwegomba kw’omubiri, kubanga kulwanagana n’omwoyo. 12 lMukuumenga empisa zammwe ennungi, abo be mubeera nabo abatakkiriza, newaakubadde baboogerako nti ebikolwa byammwe bibi, basobole okulaba ebirungi bye mukola, balyoke bagulumize Katonda ku lunaku lw’alirabikirako.

13 mKu lwa Mukama waffe, mugonderenga buli kiragiro ky’abo abali mu buyinza, oba kabaka alina obufuzi obw’oku ntikko, 14 noba abafuzi abalala b’atuma okubonerezanga abakola ebikolwa ebibi, era n’okusiimanga abo abakola ebikolwa ebirungi. 15 oKubanga Katonda asiima mukolenga ebirungi, mulyoke musirisenga abantu abasirusiru era abatalina kye bamanyi. 16 pMubenga ba ddembe, kyokka nga temulyesigamya ku kukola bitasaana, wabula mulikozese ng’abaweereza ba Katonda. 17 qMussengamu abantu bonna ekitiibwa, mwagalenga nnyo abooluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa abafuzi.

Tulabire ku Kristo

18 rAbaddu, mugonderenga bakama bammwe, nga mubassaamu ekitiibwa ekijjuvu, si abo bokka abalungi n’abakwatampola naye n’abo abakambwe. 19 sKubanga kya mukisa omuntu bw’abonyaabonyezebwa awatali nsonga, n’agumiikiriza olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala. 20 tKale kitiibwa ki kye mufuna bwe mugumiikiriza mu kubonaabona olw’okukola ekibi? Naye Katonda abasiima bwe mugumiikiriza nga mubonyaabonyezebwa olw’okukola obulungi. 21 uEkyo kye mwayitirwa kubanga ne Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako kye musaana okugoberera.

22 v“Kristo teyakola kibi
wadde okwogera ebyobukuusa.”
23Bwe yavumibwa, ye teyavuma. Era abaamubonyaabonya teyabeewerera, wabula yeewaayo eri Katonda alamula awatali kusaliriza. 24 wYesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa. 25Kubanga mwali muwabye ng’endiga, naye kaakano mukomezebbwaawo eri Omusumba era alabirira obulamu bwammwe.

Copyright information for LugEEEE